

Edda ennyo mu kyaalo kye Kabuusu, waaliyo omusajja eyayitibwanga Kato.
Kato yabeeranga ne mbwa ye mu kasiisira okumala emyaka musanvu.
Olunaku lumu Kato yalwaala nnyo Kyokka nga talina muntu amuyambako.
Bweyamala okuwona obulwadde nasalawo okuwasa omukyaala omulungi ennyo okuva ku kyaalo ekimuliraanye.
Kato yayita abemikwaano ne nganda ze bajje ku mbaga era yasanyuka nnyo anti nga amanyi afunye omuyambi.
Abagole babatonera ebirabo bingi nyo ddala.
Mu birabo mwalimu ebibbo, emikeeka, amatooke, ebisero ebijjudde obulo, ebinyebwa nebintu ebirala bingi nnyo.
Omukolo nga guwedde abagenyi bonna baddayo ewaabwe.
Kato yatandika obulamu obupya ne mukyaala we ne mbwa yabwe.
Kato yaletera mukyaala we amenvu agengedde obulungi naye omukyaala nagaana okugalya.
Kato yagenda okuyigga.
Omugole yajjayo amenvu gonna nagaalya nagamalawo.
Kato yakomawo nga ennjala emuluma nnyo nagamba mukyaala we amuwe ku menvu.
Kyokka mukyaala we yamugamba nti Embwa yagalidde gonna!
Olunaku olwaddako, Kato yagendako mu nimiro ye naye bweyakomawo awaka yasanga alidde enyama yonna ne mmere nga nembwa tagiwaddeeko yadde.
Olunaku olulala, Kato yagenda okulaba ku mukwano gwe.
Kyokka bweyakomawo yasanga omukyaala aalidde ebinyeebwa byonna nga ekisero kikalu be kkalukalu!
Kato yasoberwa era nayebuuza ekizibu ekiri ku mukyaala we omugole.
Kato yasala amagezi asobole okutegeera ekituufu.
Yaleeta amata nagateeka mu nsuwa wansi wekitanda nagenda okuyigga.
Omukyaala bweyalaba ensuwa ejjude obulungi amata amaddu negamukwata mangu ago.
Yagisitula nagissa ku mumwa natandika okunywa amaata kyokka embwa yali emulaba.
Ekyakabi ensuwa yaganira ku mumwa. Omukyaala yafuba nnyo okugijako naye nebigaana.
Yatandika okulekaana nga bwabuukabuuka naye nga tewali amuyamba! Kyokka embwa yali emulaba.
Embwa yadduka negenda mu nnimiro Kato gyeyali alima emubuulire ekiri eka.
Yaboggola nga bwebuukabuuka. Kato yamanya nti eka waliyo ekikyaamu.
Kato yadduka emisinde nga ali ne mbwa yye natuuka awaka. Yewuunya nnyo okusanga mukyaala we nga ensuwa eremedde ku mumwa.
Kato teyasooka kupapa, yasooka nayimirira, natunula butunzi.
Oluvanyuma Kato yakwata mukyaala we ku ttama ensuwa nevaako negwa wansi.
Omukyaala yaswaala nnyo mumaaso ga bba era bwatyo nasalawo adeyo mu maka ga bazadde be.

