Erinnya lyange nze Kosse.
Maama wange muyambako okukola emirimu.
Ono mwanyinaze. Erinnya lye ye Luusi. Ayagala nnyo ebibala.
Luusi ayambako maama okusiimula enyumba n'okwooza engoye.
Ono mukulu wange Erinnya lye Ye Paulo. Paulo alabirira ebisolo nga avudde ku ssomero, nabiwa ebyokulya n'amazzi.
Ono ye maama waffe. Atufumbira emmere netulya netuwoomerwa nnyo!
Ono ye taata waffe. Atusomera engero eziri mu lulimi lwaffe oluganda. Nange njagala okusoma engero. Gwe oyagala okusoma engero?