Kabali ne Kateera
Milly Kasule
Franz Phooko

Kabali ne Kateera baali ba mukwano.

1

Kabali yalina kkapa ate  Kateera yalina akamyu.

2

Buli lunaku Kabali yazannyanga ne kkapa ye ate.

3

Kateera yawanga akamyu ke omuddo.

4

Lumu akamyu ka Kateera kazaala obwaana mukaaga.

5

Obubiri nga buddugavu. Obubiri nga bwa kitaka. Obulala nga bweru.

6

Lwali lumu kkapa ya Kabali yazaala obwaana busatu.

7

Akamu kaali kasajja, obubiri nga bukazi.

8

Akamu kaali kasajja obubiri nga bukazi. Yafunamu sente naagulamu ebitabo n'ekkalaamu.

9

Naye Kabali teyafuna muguzi noomu.

10

Abantu bokukyaalo baali tebeetaaga kkapa.

11
You are free to download, copy, translate or adapt this story and use the illustrations as long as you attribute in the following way:
Kabali ne Kateera
Author - Milly Kasule
Illustration - Franz Phooko
Language - Luganda
Level - First sentences